Emizannyo

Uganda Cranes Kati Yakuzanya Mauritania-Equatorial Guinea Egobeddwa

Ali Mivule

July 4th, 2014

No comments

Uganda cranes at namboole

Eggwanga lya Equatorial Guinea ligobeddwa mu kusunsulamu abanetaba mu mpaka za Africa  eza 2015 lwakuzanyisa muzanyi atali munansi.

Bano baawandulamu eggwanga lya  Mauritania ku mugatte gwa ggoolo 3-1 mu luzanya olwayita wabula nebabawawabira lwakuzanyisa Thierry Fidjeu Tazemeta enzalwa ya Cameroon.

Kati kino kitegeeza Uganda yakuzanya Mauritania ku luzanya oluddako nga 19 July wano mu Kampala  mu mupiira ogusooka ku banesogga ez’ebibinja.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *