Olwali

Abakaabi bongezza ebisale

Abakaabi bongezza ebisale

Ali Mivule

December 10th, 2015

No comments

File Photo: Omukazi nga akaaba

File Photo: Omukazi nga akaaba

Ekibiina ky’abakaabi ekya Kumasi funeral services kyongezezza ebisale by’okukaabira ku mikolo oluvanyuma lw’okubinikibwa emisolo emipya

Akulira ekibiina kino ekisimbye amakanda mu Ghana, ategeezezza nti bamaze emyaka etaano nga tebongeza bisale kyokka nga kati kibasusseeko.

Omukulu ono agambye nti bassa ensimbi nyingi mu kutendeka abakaabi  okusobola okusikiriza ba kasitoma

Emiwendo gya bano bw’oba oyagala okukaaba okulimu ebirungo osasula enkumi ssatu eza Ghana, Okukaaba ng’omuntu yeziribanga osasula 2700, Okukaaba ng’omuntu yevulungula mu ttaka osasula kwa 3500,omuntu okukaaba n’atuuka n’okusesema osasula enkumi nnya ate ng’okukaaba kwa bulijjo kwa shs 2000 eza Ghana