Olwali

Omusajja eyakula n’awola

Ali Mivule

October 22nd, 2014

No comments

Kati munsi waliyo abasajja abatawena.

Mu ssaza lya Florida waliwo omusajja eyakula n’awola akwatiddwa nga atwalibwa mu kkomera wabula n’alema okuja mu kamotoka ka poliisi.

Howard Hendrix  nga azitowa pawundi 500 era nga muwagguufu yewunyisizza poliisi nga emmotoka gyebaleese okumuteekamu tagyamu.

Okukakana batumizza mmotoka kika kya kigaati okutwala omusajja ono mu kkomera.

Wabula naye olulabye nga poliisi etidde sayizi ye, kwekusalawo okusooka okugaana okumutikka mu mmotoka endala nga era abapoliisi baoose kusiitaana naye.