Amawulire

Gavumenti yakusasula ababulwako omwana

Ali Mivule

November 12th, 2014

No comments

Kyaddaaki gavumenti ekkirizza okuliyirira abafumbo ababbibwaako omwana waabwe omulungo mu ddwaliro e Mulago mu mwaka gwa 2012 Omuwaabi wa gavumenti Ojambo Chikpi  y’ategeezezza bino bw’abadde mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu Lydia Mugambe Ojambo agambye nti baliko webatuuse n’abafumbo bano Michael Mubangizi ne Jennifer Musimenta […]

Okuggala ebizimbe- Musango gwa KCCA

Ali Mivule

November 12th, 2014

No comments

Amadduuka ku kizimbe kya Forest Mall e Lugogo gakyaali maggale oluvanyuma lw’ekitongole kya KCCA okuggala ekizimbe kyonna. Ku mulyango gwaakyo kussiddwaako ekipande kya KCCA era nga n’abasuubuzi tebateganye kulinnya kigere. Abakungu ba KCCA  abakola ku by’obuzimbi olwaleero besozze akafubo n’abaddukanya ekizimbe kino okulaba ng’ebikibulako biterezeebwa […]

Abaana abafa e Iganga bangi

Ali Mivule

November 12th, 2014

No comments

Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga olwaleero bagenze mu maaso n’okulambula amalwaliro ng’olwaleero bagenze Iganga Ekigendererwa mu kino kumanya bya bulamu nga bwebiyimiridde n’engeri y’okuyambako Kati omu ku babaka, Godfrey Kiwanda agamba nti ebyobulamu bikyetaaga ensimbi kubanga ebyuuma ebimu tebikola Ono era agamba nti n’obwaavu bungi […]

Abasawo bebulankanya e Kyegegwa

Ali Mivule

November 12th, 2014

No comments

Spiika wo lukiiko olukulembeera disitulikiti ye kyegegwa John Lugumaye Kalega alaze obweralikirivu olw’abasawo mu malwaliro ga gavumenti abasusse okwebulankanya nga ku mirimo. Kino kidiridde abalwadde na bajanjabi mu dwaliro lya Kyegegwa heath centre 4 okwekubira enduulu eri abakulembeze mu disitulikiti ku butakolwako. Kati Lugumaye agamba […]

Obwenzi mu birombe bususse

Ali Mivule

November 12th, 2014

No comments

Ssentebe wekibiina ekigata abasima zaabu mu gombolola y’ekitumbi emubende Edward Ssenfuma alaze obwerarikirivu olwembeera y’ebyobulamu mu birombe ebisimwamu zaabu mu kitundu kino. Senfuma  tebalina kabuyonjo zimala ng’abantu abamu beyamba mu nsiko ezibetoloodde ekiyinza okuvirako endwadde ezobulabe eri abantu mu kitundu kino. Ono agamba nti n’ebikolwa […]

abakyala bafudde

Ali Mivule

November 12th, 2014

No comments

Abakyala 11 okuva mu ggwanga lya Buyindi bafudde bwebabadde balongoosebwa okukomezebwa okuzaala Bano balongooseddwa mu nkambi ekubiddwa okutumbula eky’okukomya abakyala okuzaala mu kawefube w’okukendeeza ku muwendo gw’abazaalibwa Abali mu 50 bali mu bitanda nga ku bano 20 bali bubi Abakungu mu minisitule ekola ku byobulamu […]

Abafuna Ebola bakendedde

Ali Mivule

November 12th, 2014

No comments

Omuwendo gwabantu abafuna ekirwadde kya Ebola mu bugwanjuba bwa Africa gukendedde Ekibiina ky’ebyobulamu ekya MSF kigamba nti kino kivudde ku malwaliro agajjanjaba abantu agawerako n’abasawo nga kati obukodyo bwebulina okwongerwaamu Bano bagamba nti kyetaagisaawo ekibinja ky’abakugu abakola ku baba bafunye obulwadde mu bwangu nga tebannatabuka […]

E Kasese waliwo agambibwa okubeera ne Marburg

Ali Mivule

November 12th, 2014

No comments

Nga kyakalangirirwa nga  ekirwadde kya Marburg bwekiwedde mu ggwanga wabaddewo akasattiro mu tawuni ye Kasese oluvanyuma lw’omusajja abadde n’obubonero obwefananayirizaako ekirwadde kino . Olunaku olwogulo minisitule y’ebyobulamu y’alangiridde nga Uganda bwetakyalimu Ebola. Wabula e  Kisagazi Alazio Bitaka yeralikirizza ababadde okumpi oluvanyuma lw’okusesema omusaayi nga n’obubi […]

Abasawo beedimye e Soroti

Ali Mivule

November 12th, 2014

No comments

Abayizi b’obusawo ku ddwaliro lya gavumenti e Soroti bediimye okujanjaba omuntu yenna lwaminisitule y’eby’obulamu kulwawo kubasasula. Akulira abayizi bano Isaac Orec agamba banatera kubagoba mu mayumba nga kati bateekateeka kugabana mizigo mwebasula olwabalandiloodi okutiisa okubagoba lwakumala emyezi 3 nga tebabasasula. Ono agamba baawndikira dda omuwandiisi […]

Omubbi w’emmwaanyi attiddwa

Ali Mivule

November 12th, 2014

No comments

E Kalungu Abatuuze bakkakanye ku mubbi w’emmwanyi nebamukuba mizibu egimugye mu budde. Allen Matovu nga mutuuze we Gayaza- Kawoko akwatiddwa lubona nga akungula byatasiga mu musiri gwa Kulazikulabe nebamuligita emigoba nte egimuggye mu budde. Okutwalira amateeka mu ngao kuno kubadde ku kyalo  Kitabyama oluvanyuma  lwa […]