Amawulire

Ettoffaali liri Mawokota

Ali Mivule

November 12th, 2014

No comments

Katikiro wa Buganda Charles peter Mayiga  olunaku olwaleero akutte olunaku olw’okubiri nga atalaaga esazza  ly’e mawokota, mukaweefube w’okukungaanya etofaali ,kko n’okusakirira obuganda . Akawungeezi akayise Katikiro yatalaaze e Gombolola ye Muduum, Mpigi town council kko ne gombolola y’e kiringa ente  kko Kamengo, era nga webwazibidde […]

Abe Kyambogo bakyagaanye okusasula abasomesa

Ali Mivule

November 12th, 2014

No comments

N’okutuusa kati abakulira ettendekero lye Kyambogo tebanasasula nsako y’abasomesa nga ebula ennaku 2 zokka nsalasale eyatekebwawo abasomesa okuteeka wansi ebikola okutuuka. Abasomesa bano abasoba mu r 700 baawa abakulira ettendekero lino okutuusa nga 14 November nga basasudde ensako yaabwe ey’emwezi 2 egiyise oba sikyo bekalakaase. […]

Amasomero 15,000 mu kampala gakola mu mukyaamu

Ali Mivule

November 12th, 2014

No comments

Kizuuliddwa nga amassomero gomukampala  ebitundu 39% mu Kampala bwegatali mu bitabo bya minisitule y’ebyenjigiriza nga era tegamanyi.   Kampuni ya Agile Learning Company yakoze okunonyereza mu disitulikiti ye Wakiso ne Kampala nekizulibwa nga amasomero 1500 bwegatamanyiddwa.   Okunonyereza kuno kwagendereddwamu kumalawo massomero n’abasomesa abempewo.   […]

Kamulali alamudde

Ali Mivule

November 11th, 2014

No comments

Kubamu akafanyi ng’olaba fiirimu yo nga neyiba wo ali ku ssimu ye azannya naye ng’akuwogganira Kati omusajja abadde atudde okumpi n’omukyala n’amusaba okulekera awo okumuwogganira n’agaana alifa tazzeemu kutawaanya bakola byaabwe Omukyala ono mu ngeri y’okwekaza, ajjeeyo kamulali mu nsawo ye n’amukuba omusajja ono mu […]

Kibaweddeko

Ali Mivule

November 11th, 2014

No comments

Poliisi eyitiddwa bukubirire era neyebulungulula ekizimbe omubadde muva amaloboozi buli g’alowoozezza nti ga Muntu alumbiddwa ababbi Nga bamaze okwetoloola, bafunye kizindaalo nebalagira ababbi okufuluma mu bwangu Kibabuseeko okutuuka munda nga waliwo omusajja eyezannyira omuzannyo gwa chess nga y’abadde anyumirwa akazannya Bino bibadde mu ggwanga lya […]

Forest Mall eggaddwa

Ali Mivule

November 11th, 2014

No comments

Ekitongole kya Kampala capital city authority kiggadde ekizimbe kya Forest Mall Ekizimbe kino yadde kimaze emyaka egisoba mu ebiri tekirina permit kukola Ekizimbe ekyogerwaako kisangibwa Lugogo okumpi ne Game Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti bannanyini bizimbe bonna balina okubeera n’ekiwandiiko ekibakkiriza okukola emirimu […]

Okusabira eyali akulembera Zambia

Ali Mivule

November 11th, 2014

No comments

Eggwanga lya Zambia olwaleero lisabidde eyali omukulembeze waalyo Michael Sata Ono yafa omwezi oguwedde ng’aweza emyaka 77 Nasiisi w’omuntu yeeyetabye mu kusaba mu kisaawe ky’abazira mu kibuga Lusaka Sata eyamanyika ennyo olw’okuwandula ebigambo era nga baali bamukazaako erya King Combra yafuuka pulezidenti mu mwaka gwa […]

SAFI ezzeemu okukola

Ali Mivule

November 11th, 2014

No comments

Ekitongole ekikola ku by’emutindo mu ggwanga kigguddewo kkampuni ya House of Eden ng’eno y’ekola eky’okunywa ekya SAFI KKampuni eno yali yayimirizibwa okukola SAFi wa straw berry olw’ensonga nti ekimu ku birungo ebyaali bikozesebwa byaali bikyaamu Akulira ekitongole kino Ben Manyindo agamba nti kampuni eno ekoze […]

Abatembeeya ensenene baggaliddwa

Ali Mivule

November 11th, 2014

No comments

Nga  sizoni y’ensenene kyeggye etandike, abazitembeeya bandisanga obuzibu okukikolera ,mu kibuga Abawerera ddala kkumi ababadde bazitambuliza mu kibuga olwaleero bagguddwaako rmisango ku kkooti ya Cityhall mu maaso g’omulamuzi Moses  Nabende Emisango nabo tebabadde babi nebagikkiriza Omulamuzi  kati abalagidde  buli  omu  okusasula  engassi  ya mitwalo  200,000  […]

Temwawula mu disitulikiti

Ali Mivule

November 11th, 2014

No comments

Gavumenti esabiddwa okusooka okwetegereza ensonga y’okutondawo disitullikiti empya okulaba oba ddala zeetagisa Ssabbiiti ewedde, ababaka abatuula ku kakiiko akakola ku gavumenti z’ebitundu bawagidde eky’okukutulamu disitulikiti ye Wakiso, Kibaale, Kabale, Arua ne Kasese. Kati akulira ekibiina ekigatta gavumenti z’ebitundu Fred Gume agamba nti disitulikiti empya zoolese […]