Amawulire

Ani atta abantu mu kibuga

Ali Mivule

November 11th, 2014

No comments

Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga benyamidde olw’ettemu erisusse mu kibuga Kino kiddiridde okuttibwa kw’omusuubuzi Charles Lwanga abadde akakkalabiza egigye ku kizimbe kya mabirizi Ababaka okubadde Kassiano Wadri, Alice Alaso, Ababiku Jessica ne Bayiga Lulume ettemu lino balitadde ku mundu eziyitiridde obungi mu banu Bagaala gavumenti […]

Ab’omu kikuubo baakuwa emisolo

Ali Mivule

November 11th, 2014

No comments

Kkooti enkulu egobye okusaba okwakolebwa abasuubuzi mu kikuubo nga bawakanya okuwa emisolo Omulamuzi Lydia Mugambe abasabye okulinda ekinasalibwaawo kkooti mu musango omukulu. Bano baali baasaba kkooti nti esooke ewere eby’okusasula emisolo eri ekibiina ekibakulira ekya Kikuubo business community limited okutuuka ng’okwemulugunya kwaabwe kuwuliddwa Omulamuzi agambye […]

Ab’omu kisenyi ssibakusengulwa

Ali Mivule

November 11th, 2014

No comments

Ekitongole kya Kampala capital city authority kiyimirizza eby’okusengula abantu ababeera n’okukolera mu kisenyi Bino bituukiddwaako mu Lukiiko wakati w’abakulembeze mu KCCA, amyuka omubaka wa pulezidenti mu kibuga ,Allan Kajik n’ababeera mu Kisenyi Akulira abakozi ku ggombolola y’omukulu w’ekibuga Catherine Musingwire agambye nti bakusooka kumalawo kusika […]

Uganda eweddemu ekirwadde kya Marburg

Ali Mivule

November 11th, 2014

No comments

Uganda eweddemu ekirwadde kyaMarburg. Minisita omubeezi akola ku byobulamu  Sarah Opendi y’alangiridde bwati mu lukiiko lwa bannamawulire olukubiddwa ku kitebe kya gavumenti ekya Mawulire ekya Media center. Opendi agambye nti obulwadde buno busobodde okubutaayiza era nga buwereddewo ddala Obulwadde buno kyalangirirwa nti bulumbye eggwanga nga 4 […]

Abawadde obutwa

Ali Mivule

November 11th, 2014

No comments

Poliisi ye  Butenga mu disitulikiti ye   Bukomansimbi  eriko omukazi  ow’emyaka 40 gwekutte lwakuwa bantu 30 obutwa.   Dativa Nabatanzi omutuuze we  Kagoggo y’awatiddwa  lwakulunga bulukuumi  mu mmere n’agiwa abalokole b’ekanisa ya  Mukama Bwebutukirivu Bwaffe. Wiiki ewedde  abagoberezi 30 baddusibwa mu ddwaliro ly’e Masaka  nga bali […]

Amasanyalaze gasse omuzimbi

Ali Mivule

November 10th, 2014

No comments

Omuntu omu akubiddwa amasanyalaze agamuttiddewo e Namugongo Omugenzi ategerekeseeko lya Kasozi omuzimbi. Amasanyalaze gano kigambibwa okuba nga gayungibwa omukyala ategerekese nga Caroline Natukunda nga gali ku kikomera okuliraana ekinaabiro Kasozi mw’abadde anaabira Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba nti Natukunda akwatiddwa okunyonyola […]

KKapa ekuba eddubi

Ali Mivule

November 10th, 2014

No comments

Kizibu okusanga kkapa ewuga naye eno emenye likoda. Kkapa eno ey’omwaka ogumu buli lw’ewubaala ng’ekka mu mazzi ekuba eddubi obutawukanako na mbaata Kati nno waliwo kkampuni egitaddemu ensimbi ng’egikoledde ka jaketi akawuga nga Kalanga eddagala erissibwa mu mazzi g’okuwuga Eddagala lino yadde likola ku mazzi […]

Omulangira Ssimbwa aterekeddwa

Ali Mivule

November 10th, 2014

No comments

Nasiisi w’omuntu akungaanidde ku Masiro ke Kasubi okwetaba mu mikolo gy’okutereka Omulangira David Wasajja Ssimbwa Omulangira ono yasereera ssabbiiti ewedde Akedde kusabirwa ku lutikko e Namirembe gy’ayogeddwaamu ngomusajja enjasa biggu Omulangira wasajja y’abadde taata wa Kabaka Mutebi asigaddewo mu lubu lwa ssekabaka Chwa.

Enyumba y’emizimu ekimazeeko abantu

Ali Mivule

November 10th, 2014

No comments

Omusajja eyewaddeyo okunonyereza ku mizimu ogyasenga mu nyumba okuva mu mwaka gwa 1912 yekyukidde neyefumita ebiso Robert Laursen ow’emyaka  37  addusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka Enyumba eyogerwaako kigambibwa okuba nga yafiiramu abaana mukaaga n’abakulu 2 abakubwa obubazzi era nga yafuuka kyabulambuzi olw’ebigambibwa nti kati […]

Aba She-Cranes banesogga enkambi

Ali Mivule

November 10th, 2014

No comments

Ekibiina ekikulembera omuzannyo gw’okubaka mu ggwanga kyakulangirira abazanyi 30 abagenda okutendekebwa okwetaba mu mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna ku lwokutaano lwa week eno . Abanaalondebwa  okugenda mu Australia bakutandika okutendeka nga 18 omwezi gino Omuwandiisi w’ekibiina kino mu ggwanga Annet Kisomose ategezezza nga okutendekebwa bwekugenda okubeera […]