Amawulire

Abayizi bakubiddwa bbomu- 47 bafudde

Ali Mivule

November 10th, 2014

No comments

Abayizi 47 beebafudde omutujju bweyebalusirizzaako bbomu mu kibuga kya Nigeria Potiskum Bbomu eno ebalukidde ku ssomero ly’abalenzi erya sayansi era ng’omutujju agiteze abadde ayambadde ng’omuyizi Ab’akabinja ka Bokoharam kiteberezebwa okuba nti beebakoze obulumbaganyi buno yadde nga tebannakikakasa

KCCA tesobola kuwera mizigo

Ali Mivule

November 10th, 2014

No comments

Kampala capital city authority alabuddwa ku kuwera emizigo mu kibuga nga terina mulaani ngundiivu Omubaka we Ndorwa mu buvanjuba Wilfred Niwagaba agamba nti KCCA yendipapiriza okukola kino nga terina na w’eteeka bantu Niwagaba agamba nti n’amateeka genyini tegawera mizigo KCCA yalangiridde enteekateeka ewera muzigo gumu, […]

Omusuubuzi attiddwa

Ali Mivule

November 10th, 2014

No comments

Poliisi mu Kampala etandise okunonyereza ku musuubuzi ayakubiddwa amasasi agaamusse Charles Lwanga  ng’emirimu abadde agikkakkalabiza ku kizimbe kya Mabirizi baamusse adda waka Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti omugenzi yabadde atambula n’omukyala agambibwa okuba muganzi we kyokka nga yabuze amangu ddala […]

Akulira essomero abbidde

Ali Mivule

November 10th, 2014

No comments

Ebadde ntiisa e Mijwala Sembabule, omukulembeze w’essomero bw’agudde mu kidiba ky’amazzi n’afiiriwo. Vincent Ssenganda  nga y’abadde akulira essomero lya Garden of Hope Secondary schoolabadde agenze kuwuga mu kidiba Maama w’omugenzi, Florence Mukambi nti yabadde agenze n’abayizi okukuba amataffaali kyokka n’asikirizibwa, kwekuwugamu. Omu ku batuuze Ahmed […]

Abayizi batandise ebigezo- awamu bitataaganye

Ali Mivule

November 10th, 2014

No comments

Abayizi bataano aba siniya y’omukaaga tebakoze bigezo ebitandise olwaleero Abayizi bano bonna nga bava mu ssomero lya Mbale secondary school tebalabiseeko nga kigambibwa okuba nti balwadde. Abasatu tebakoze kigezo kya Biology ate ababiri tebakoze kigezo kya Economics. Akulembeddemu okukuuma ebigezo, Bernard Nakisa agambye nti ategeezeddwa […]

Uganda yakulangirirwa nti eweddemu Marburg

Ali Mivule

November 10th, 2014

No comments

Eggwanga lyakulangirirwa nti liweddemu ekirwadde kya Marburg ssinga tewabaawo Muntu mupya afuna obulwadde buno mu nnaku ssatu Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Asuman Lukwago agamba nti kati ennaku ziweze 30 nga tewali Muntu mupya yaafunye kirwadde kino Dr. Lukwago agamba nti abantu abataano bebaali […]

Abakyala baboolebwa mu Buyindi

Ali Mivule

November 10th, 2014

No comments

Mu ggwanga lya Buyindi amaloboozi agasaba nti abakyala bongerwe okuyambibwa nga bali mu nsonga zaabwe geyongedde Mu ggwanga lya Buyindi, abakyala baboolebwa nga bali mu nsonga era nga tebakkirizibwa kufumba yadde okugenda mu masinzizo Ababbaboola bagamba nti mu nnaku zino omukyala abeera mujama, mulwadde era […]

Omuntu awuliriza ebintu bitaano

Ali Mivule

November 10th, 2014

No comments

Abakugu bakizudde nti omuntu asobola okuwuliriza ebintu ebikaawa, ebirimu omunnyo, ebibalaala n’ebiwooma omulundi gumu Buno babituseeko oluvanyuma lw’emyaka nga banonyereza era nga bigenda kuyamba okumalawo okukaayana ng’abamu bagamba nti obwongo tebusobola kuwuliza bintu bino Basanguddewo n’ebigambibwa nti entikko y’olulimi yeeyokka ewuliza ebiwooma. Abakugu okuva mu […]

Abaggagga basitukiddemu ku Ebola

Ali Mivule

November 10th, 2014

No comments

Banaggagga 10 batonzeewo ensawo enayamba abantu abakoseddwa ekirwadde kya Ebola Bano basisikanye mu ggwanga lya Ethiopia era nebasondawo doola obukadde 28 ezigenda okuyamba okusindika abasawo mu ggwanga lya Guinea, Sierra Leone ne Liberia. Abakugu bagamba nti obulwadde buno basobodde okubwetoloola nga kati kufuba kujjanjaba ababulina […]

Poliisi egumbye ku ofiisi za FDC

Ali Mivule

November 10th, 2014

No comments

Poliisi eyiiriddwa okwetolola ofiisi z’ekibiina kya FDC e Najjanankumbi oluvanyuma lw’okukitegeerako nti abavubuka b’ekibiina kino bagenda kutongoza kawefube w’okwekubya ebifananyi nga tebambadde masaati. Bano baagala omuyambi w’eyali ssenkagale wa FDC Dr Kiiza Besigye’s, Sam Mugumya aleetebwe mu kkooti oluvanyuma lw’okukwatibwa mu ggwanga lya Congo ku […]