Amawulire

Omulangira aterekebwa leero

Ali Mivule

November 10th, 2014

No comments

Omulangira David Ssimbwa eyaseerera wiiki ewedde asuubirwa okuterekebwa olunaku olwaleero wali ku masiro e Kasubi. Wabula nga obuwangwa bwebulambika , ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi siwakuziika kitaawe ono kubanga Kabaka Taziika. Olunaku olweggulo pulezidenti Museveni yatuuseeko mu maka g’omugenzi e Kabowa n’akungubagira omugenzi. Pulezidenti yategezezza  […]

Aba Taxi batabuse

Ali Mivule

November 10th, 2014

No comments

Waliwo ekiwayi ky’abagoba ba taxi abalumbye  ekitebe kya KCCA wali ku City hall nga bawakanya okulonda  kw’abakulembeze baabwe abaggya okutegekeddwa olunaku olwaleero wali e Nakivubo. Kino kiddiridde olukungaana olwategekeddwa olunaku lw’eggulo wakati w’abavuzi ba Taxi ,poliisi ne minisita w’obutebenkevu  bw’eggwanga  Muruuli Mukasa nebaKiriziganya okulonda kwabano […]

Teri ayagala kukwata Mbabazi- Poliisi

Ali Mivule

November 7th, 2014

No comments

Poliisi esambazze ebigambibwa nti erina enteekateeka z’okukwata eyali ssabaminista Amama Mbabazi Kiddiridde amawulire okufuluma leero nga galaga nti gavumenti emalirizza enteekateeka z’okukwata  Mbabazi nga byekuusa ku banka ye eya National Bank of Commerce Enanga agamba nti nabo bafunye ebbaluwa okuva mu bannamateeka ba Mbabazi nga […]

Abagambibwa okuba abatujju bazze mu kkomera

Ali Mivule

November 7th, 2014

No comments

Abagambibwa okubeera abatujju abaakwatibwa okuva mu Kisenyi bagaaniddwa okweyimirirwa. Bano balabiseeko mu maaso g’omulamuzi Moses Mukiibi owa kkooti enkulu ekola ku misango egikwata ku nsi yonna n’abasindika mu kkomera Omulamuzi Mukiibi agambye nti bano emisango gyebaliko minene okubawa okweyimirirwa era nga okubayimbula kijja kuba kiteeka […]

Abayizi abasinga tebasoma

Ali Mivule

November 7th, 2014

No comments

Okukozesa abaana abato kyekimu ku bikyabalemesezza okusoma naddala mu bitundu by’ekyaalo Okusinziira ku alipoota eyakolebwa ekibiina ekirwanirira eddembe ly’abakozi mu nsi yonna, abaana obukadde bubiri abalina okubeera mu masomero basiiba ku mirimu egitali gimu omuli okuvuba, okulunda n’okulima Kati ababaka ba palamenti nga bakulembeddwaamu Muwanga […]

Temuyigga nsolo- Mutagamba

Ali Mivule

November 7th, 2014

No comments

Minisitule ekola ku byobulambuzi eyagala abantu bakwatagane n’abakulembeze bw’ebitundu mu kulwanyisa abayigga ebisolo Ng’ayogerera ku mikolo gy’okukubaganya ebirowoozo ku nkyukakyuka mu mbeera y’obudde Minisita w’ebyobulambuzi Maria Mutagamba agambye nti okuyigga ensolo kukyaali kungi ng’abantu batuuka ne mu makuumiro g’ebisolo Kino agamba nti kisinze kuva ku […]

ZZiwa aboggodde- Sijja kulekulira

Ali Mivule

November 7th, 2014

No comments

Sipiika w’olukiiko lwa East African Margret Zziwa ategeezezza nga bw’atasobola kulekulira kifo kye wadde nga waliwo ababaka abazzeemu okubaga enteekateeka ez’okumujjamu obwesige. Kino kiddiridde ababaka abamu ababadde mu lutuula e Rwanda okwemulugunya ku ngeri Zziwa gy’akolamu emirimu gye ng’abamu bamulumiriza okubasosola. Wabula Zziwa agambye nti […]

Abasomesa balwanidde omusajja

Ali Mivule

November 7th, 2014

No comments

Poliisi ku kyalo Jalamba mu disitulikiti ye Mpigi eriko abasomesa  2 beekute abakedde okulwanira mu maaso ng’abayizi ng’entabwe evudde ku musajja. Abakwatiddwa kuliko Stella Nakyobe, akadde okulumbagana Agnes Nansereko , gwabade alumiriza okumwagalira omusajja  olwo nebatanula okulwanagana. Bano kati bagaliddwa ku poliisi ye Buwama nga […]

Abasuubuzi mu Owino batabuse

Ali Mivule

November 7th, 2014

No comments

Abamu ku basuubuzi mu katale ka St Balikudembe abawakanya obukulembeze bwa  SLOA bevumbye akafubo n’abakungu okuva mu KCCA okuteme empenda ezokumalawo okulwanagana okugenda mu maaso mu katale kano. Abasubuzi bano babadde bakulembeddwamu ssentebe wabwe Joseph Lwanga bategezeza KCCA ngabwebatulugunyizibwa ebitagambika ngabagyibwako empooza. Amyuka omwogezi wa […]

Amataba gabulabe ku bulamu

Ali Mivule

November 7th, 2014

No comments

Ng’amataba gakyatigomya abantu be Ntoroko, embeera yaabwe ey’ebyobulamu nayo yeralikiriza. Mu magombolola 4 agali mu disitulikiti eno mulimu  eddwaliro limu erya health centre 4  kyokka nga liri ku lusozi nga era bantu abasinga batindigga engendo empanvu okutuukayo. Ekyeralikiriza kwekuba nga n’eddwaliro ly’enyini  lyayingiddemu amazzi kale […]