Amawulire
Akeedimo k’abasawo kayingidde olunaku lw’okubiri
Akeediimo k’abasawo mu malwaliro ga KCCA kayingidde olunaku olwokubiri nga era abalwadde bakyakonkomadde awatali basawo babajanjaba.
Kanaluzaana, misaala kulwayo
Wano ku ddwaliro lya Kisenyi abasawo batudde ku bifuji balasa luboozi awatali kufa ku balwadde abasinda era nga bwekyabadde olunaku olw’eggulo abakyala b’embuto bebasinze okubonabona.
E Kawala embeera yeemu ne kuddwaliro lya Kiswa.
Olunaku olw’eggulo aba KCCA basuubizza okusasula emisaala gy’abasawo bano nga terunaziba wabula nga gati gwafuuse ganyana.
Bibadde bikyali bityo n’abasomesa nebongera omunyo mu bbwa bwebategezezza nga bwebagenda okwegatta ku basawo bediime ku nsonga yeemu ey’okulwawo okufuna emisaala kati myezi 3.
Mu kaseera kano abasomesa bali mu kafubo n’aba KCCA ku City hall okusalira ekizibu kino eddagala.
Yo KCCA egamba okulwawo okusasula bano kivudde ku kwekenenya olukalala bano kwebasasulirwa okusobola okugyamu abakozi b’empewo.