Amawulire
Okuziika abantu mu kirindi- Okunonyereza kutandise
Poliisi e Kasese etandise okunonyereza ku balumbaganyi abaziikibwa ekirindi oluvanyuma lw’okuttibwa bwebaali balumbye abantu mu kitundu kya Rwenzori.
Gyebuvuddeko amaggye gaakakasa ng’abantu abasoba mu 60 bwebaazikibwa ekirindi oluvanyuma lw’ab’enganda zaabwe okulemerewa okuddukira emirambo gyabwe.
Omuduumizi wa poliisi mu bugwanjuba bw’eggwanga Thomas Kasimo agamba ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kayihura yalagidde dda poliisi okwanguya okunonyereza ku nsonga eno okumanya omuwendo omutuufu ogw’abo abaazikibwa ekirindi.
Abalumbaganyi abasoba mu 70 beebattibwa mu kavuvungano bwebaalumba abatuuze mu disitulikiti 3 okuli Ntoroko, Bundubugyo ne Kasese nga abasinga battibwa bagezaako kulumba nkambi y’amaggye e Bundibugyo.
Mungeri yeemu
Bbo abavunaanibwa okutta abantu mu bitundu by’e Rwenzori 51 nga bebasembayo bakulabikako maaso ga kkooti y’amagye olunaku olwenkya.
Wiiki ewedde 126 beebaggulwako emisango egitali gimu wali e Bundibugyo.
Omwogezi w’amaggye g’ekibinja eky’okubiri Major Ronald Kakurungu, agamba kati boolekedde Kasese gyebagenda okuvunaanira bano.
Bonna abaggulwaako emisango baasindikibwa ku alimanda mu kkomera lya Kyotogyo e Fort Portal okutuusa nga 30 July 2014