Amawulire
Ttiya gaasi anyoose e Makerere
Poliisi ekubye omukka ogubalagala mu bayizi b’e Makerere okubagumbula omuvanyuma lw’okutanula okukola effujjo nga bekalakaasa.
Bano bawakanya eky’abakulira ettendekero lino okwongeza ebisale by’abayizi abapya n’ebitundu 10%.
Abayizi bavudde mu mbeera oluvanyuma lw’okulinda ssenkagale wa poliisi Gen Kale Kayihura nga tatuuka olwo nebaagala okulumba palamenti gyebaba balagira obutali bumativu bwaabwe.
Wabula poliisi nga edumirwa akulira ebikwekweto mu mambuka ga Kampala Sam Omala ebalabukiridde nebakubamu omukka guno ogubabunyizza emiwabo.
Omala anenyezza nyo abayizi bano obutaba na bugumikiriza nga ate ye talina buyinza buyita mukamaawe nga era ye aliwo kuziyiza bujagalalo bwonna.
Wabula oluvanyuma Gen Kale Kayihura atuuse ku ttendekero lino neyevumba akafubo n’amyuka Kyansala w’ettendekero lino pulofesa Dumba Sentamu, ssentebe w’ekibiina ekigatta abasomesa b’e Makerere Dr. Mohamed Kiggundu n’akulira abayizi ku ttendekero lino Dr. Mohamed Kiggundu.
Wowulirira bino nga ekizimbe mwebali poliisi eky’ebulunguludde nga bwetulinda ebivaayo.