Amawulire
Odoki aluyiseeko nate- omusango gwe gwongezeddwaayo
Okumanya oba eyali ssabalamuzi w’eggwanga Benjamin Odoki anadda mu ofiisi kukyakandaliridde.
Kino kiddiridde Kkooti etaputa ssemateeka okwongezaayo okuwulira okwemulugunya Kw’omubaka wa bavubuka mu bugwanjuba bw’eggwanga Gerald Karuhanga awakanya Odoki okuddamu okuweebwa omulimu nga ate atuusizza emyaka egiwumula.
Okuwulira omusango guno kubadde kusuubirwa olunaku olwaleero wabula omuwandiisi wa Kkooti nakwongezaayo oluvanyuma lw’abalamuzi 4 ku bataano obutalabikako.
Karuhanga agamba kikyamu Odoki okuddamu okubeera ssabalamuzi nga asussa emyaka 70 omukozi wa gavumenti
gyalina okuwummulirako.
Karuhanga nga ayita mu munnamateekawe George Kanyeihamba era agamba pulezidenti Museveni yasuula ttayo amagezi agaamuweebwa akakiiko akafuga abalamuzi obutaddamu kulonda Odoki kubanga yasussa dda emyaka egikirizibwa mu mateeka wabula yye namuwa ekisanja ekirala eky’emyaaka 2.
Karuhanga awakanya kino nti kutyoboola ssemateeka era kulinyirira buyinza bwa siga ddamuzi.
Ono kati atagala gavumenti esazeemu ekyokuddamu okuwa odooki omulimu guno.