Ebyobulamu

Eddagala erigema omusujja gw’ensiri lijja

Ali Mivule

July 30th, 2014

No comments

mosquito

Abakugu okuva mu nsi yonna abanonyereza ku ddagala erigema omusujja gw’ensiri basemberedde okutuuka ku buwanguzi nga bagamba nti omwaka 2015 wegunaatukira, eddagala lino lyandiba nga litandise okukozesebwa

Bano bagamba nti byebakagezesaako biraga nti ku buli baana 1000 beebawa eddagala erigema omusujja guno, 800 ku bbo tebafuna musujja guno

Mu kunonyereza kwebakakola kiraze nti eddagala lino okukola obulungi , nga wayiseewo emyezi 18 ng’omuntu amaze okugemebwa

Abanonyereza ku ddagala lino aba GSK kati bawaddeyo okusaba kwaabwe eri bakama baabwe okulaba oba eddagala lino liyisibwaamu olwo litandike okukozesebwa

Mu Uganda, omusujja gw’ensiri gwegwakasinga okutta abantu ng’abasinga okukosebwa beebana abatannaba kuweza myaka etaano , abakyala b’embuto n’abalwadde ba Mukenenya.

Ku bantu amakumi ana abagenda mu malwaliro okufuna obujjanjabi, abaweza ebitundu 25 ku kikumi babeera balina omusujja gw’ensiri