Ebyobulamu
Okunyiiga kulwaaza
Obadde okimanyi nti okunyiganyiiga bulwadde.
Omusawo w’emitwe mu ddwaliro ekkulu e Mulago, Dr Samuel Mugamba agamba nti abantu abanyiiga amangu babeera n’obuzibu mu mbeera zaabwe era kibakoseza ddala.
Dr Mugamba agamba nti omuntu okunyiiga kimuviirako okusiba emisuwa , okulumwa omutwe n’omutima okukuba ennyo eky’obulabe ennyo eri obulamu
Wabula omusawo ono agamba nti ssinga omuntu amanya engeri y’okwewalamu okubeera n’akasunguyira kisobola okumutaasa