Ebyobulamu
Okulya ebibala n’ebivavava kiwangaaza
Okunonyereza okuggya okukoleddwa kulaga nti ssinga omuntu alya ebibabala n’ebivavava okumala ennaku ttaano ez’omuddiringanwa, kimuyamba okwekuuma nga mulamu n’obutagejja nnyo kyokka nga ssinga omuntu alya nnyo tekikola nga bwekirina kuba
Okunonyereza kuno kukoleddwa mu mawanga agatali gamu 16 kulaga nti endya bw’eti ekendeeza obulabe bw’omuntu okufa amangu
Wabula okunonyereza tekulaga kiki ekiddirira oluvanyuma lw’ennaku ettaano ng’omuntu amaze okulya ebibala bino n’ebiva
Wabaddewo abasawo abagamba nti omuntu asaanye okulya ebibala n’ebiva okumala ennaku musanvu bw’aba wakuwangaala n’okwewala endwadde