Amawulire

Etteeka ku bisiyaga ligobeddwa

Ali Mivule

August 1st, 2014

No comments

constitutional court

Kooti etaputa seemateeka esazeewo nti etteeka eriwera ebisiyaga  lyayisibwa mu bukyamu.

Abalamuzi 5 nga bakulembeddwaamu akola nga ssabalamuzi Steven Kavuma, bonna bassizza kimu nti sipiika  Rebecca Kadaga teyalina buyinza kuyisa tteeka kubanga  palamenti teyalina babaka bamala.

Abalamuzi era basazeewo nti ekikolwa kya sipiika kyamenya ssemateeka wamu n’amateeka agafuga palamenti.

Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu nga bakulembeddwaamu Prof. Oloka Onyango, Andrew Mwenda, Prof. Ongenga Latigo  beekubira enduulu mu kooti etaputa ssemateeka nga bagamba nti palamenti okuyisa etteeka lino teyalina ababaka bamala.

Amangu ddala ng’abalamuzi bakawa ensalawo yaabwe twogeddeko n’eyali minisita w’empisa n’obuntu bulamu James Nsabo Butuuro, atutegezeza nti bo bawakanya ensalawo ya kooti era nga kati bagenda kutegeka akalulu k’ekikungo ku tteeka lino.

Ye pastor Martin Ssempa agambye nti eggwanga liri mu biwoobe oluvanyuma lw’ensalawo ya Kooti.

Ye  sheikh Idris Mbabali agambye nti bbo ng’abasiraamu bawakanya ekisaliddwaawo kkooti.

Shiekh Mbabali agambye nti ebisiyaga bivoola ediini y’obuyisiramu era abasiyazi basaana kuttibwa.

Wabula omu ku bannamateeka ababadde bawakanya etteeka lino Caleb Alaka agambye nti ensalawo ya kkooti eraze nti amateeka galina okuyisibwa mu ngeri egoberera ssemateeka.