Amawulire
Odoki tasobola kubeera ssabalamuzi nate- Kkooti
Benjamin Odoki eby’okuddamu okubeera Ssabalamuzi w’eggwanga abifuuye mu ngombe.
Abalamuzi bana ku bataano mu kkooti etaputa ssemateeka basazeewo nti ono okuddamu okugonomolwako ogufo guno eba nsobi era Kulinyirira ssemateeka.
Abalamuzi bano okuli Solome Barungi Bbosa, Eldad Mwangusha, Lilian Tibatemwa ne Remmy Kasule bonna bakkiriziganyizza nga Mukulu Odoki bweyatuusa dda emyaka 70 egy’okuwumula kale nga tasaana kudda ku bwa ssabalamuzi.
Abalamuzi bano era bategezezza nga omukulembeze w’eggwanga bweyasuula muguluka amagezi agaamuweebwa akakiiko akalamuzi ku kulondebwa kwa Odoki nga ate kaali kasembye omulamuzi Bart Katureebe okuweebwa ekifo kino.
Omulamuzi Remmy Kasule era agugumbudde ssabawolereza wa gavumenti obutawabula mukulembeze w’eggwanga ku kulondebwa kwa Odoki.
Wabula ono agaanye okuliyirira abaawaaba omusango guno lwamunnamateeka waabwe George Kanyeihamba okusiiwuka empisa neyekandagga mu kuwulira omusango guno gyebuvuddeko.
Wabula ye omulamuzi Opio Aweri nga yayawukanye ku nsala ya banne n’ategeeza nga Odoki bweyali yava dda mu ofiisi w’eyaddiramu okuweebwa ekifo kino nga era ssemateeka ssimulambulukufu ku ky’omuntu akuliridde okuddamu okuweebwa omulimu nga awumudde.
Omubaka w’abavubuka mu bugwanjuba bw’eggwanga Gerald Karuhanga nga ayita mu munnamateekawe George Kanyeihamba, yaddukira mu kkooti nga awakanya okulondebwa kwa Odoki ku kisanja ek’emyaka 2 kubanga emyaka gyali gyamulekawo dda okubeera mu kifo kino.