Amawulire
Abaazimba ku ggaali y’omukka ne wansi w’amasanyalaze bakaaba
Akulira oluvuganya gavumenti mu palamenti avumiridde engeri KCCA gy’esenguddemu abantu abasenga mu luguudo lw’eggaali y’omukka.
KCCA ssabbiiti ewedde yatandika okusengula abo bonna abasenga mita 30 okuva ku luguudo lw’eggaali y’omukka era nga bangi balozezza klu bukambwe
Wafula Oguttu agamba nti ekikolwa kino ssi kyabuntu bulamu nga kyabadde kisoboka KCCa n’esooka okwogeramu n’abantu
Wafula era asuubizza okunonyereza ku bigambibwa nti waliwo abantu abafa mu kavuyo akaaliwo mu kusengula abantu nga councilor w’omu Ndeeba James Sekidde bw’ategeezezza palamenti
Nga bano bakaaba gwaabwe ate n’abazimba okumpi ne waya z’amasanyalaze bakaaba kyekimu
Olwaleero ababunyisa amasanyalaza batandise omulimu gw’okubasengula nga bano bagenda kumala omwezi mulamba nga bakola kino.
Abatuunuliddwa kuliko ababeera Nakawa, Bwaise, Mukago, Namungona, Mutundwe, Ndeeba, Bukooto ne Naguru.
Atwala kkampuni ebunyisa amasanyalaze Erias Kiyemba agambye nti abantu bano babasasula kyokka ate nebalemera mu kifo ekyo.
Enyumba bbiri zimaze okumenyebwa e Nabusuggwe Mukono era lwa nsonga eno.
Wabula abatuuze balumiriza nti tebasasulwanga era bavumiridde ekikolwa ky’okubasengula