Ebyobulamu
Uganda y’akulwanyisa omuze gw’okukecula abakyala mu mbugo
Uganda ebaze ku lutalo lw’okulwanyisa omuze gw’okukecula abakyala mu mbugo.
Bino bizze ng’eggwanga lyeteekateeka okukuza olunaku oluvumirira ekikolwa kino olugenda okukwatibwa olunaku lw’enkya. Minister omubeezi akola ku byobuwangwa, Rukia Nakadama agamba nti abakyala abali mu bukadde 120 beebakeculwa buli mwaka ku lukalu lwa ssemazinga wa Africa.
Ku bano nno abakyala obukadde busatu beebafa. Nakadama agamba nti amawanga wano mu Uganda ng’aga Ba sebei gakyalemedde ku muze guno ogussa obulamu bw’abakyala mu bulabe.