Amawulire
Abe Nakasongola bakubye ku Matu- Poliisi ezuukuse
Abasumattuse akabenje ke Nakasongola olunaku lwajjo bajja bakuba ku matu
Abalwadde bano abawerera ddala 16 bajjiddwa mu ddwaliro e Nakasongola nebaddizibwa e Mulago olw’embeera embi gyebabaddemu
Omwogezi w’eddwaliro lye Mulago Enock Kusasira agambye nti abantu mukaaga beebasibuddwa nga munaana bbo bakyabajjanjaba
Kusaasira agamba nti babiri ku bano wabula bakyaali bubi ddala
Ng’obubenje ku nguudo bujja bweyongera, poliisi nayo ekyusizza enkola ng’ezizzaawo ebifo ebikebera emmotoka ezisaabaza abantu
Ebifo bino byakussibwa e Nsangi, Matugga, Kafu, Luweero ne Iganga
Kamisona akola ku ntambula y’ebidduka mu poliisi Steven Kasiima agambye nti baali bajjawo ebifo bino kubanga obubenje bwaali bukendedde naye kati kirabika abantu bazzeemu okulagajjala