Amawulire
Okulya enguzi kukyaali kungi- poliisi eremeddeko ku ntikko
Alipoota efulumiziddwa kaliisoliiso wa gavumenti eraga abantu bongera bwongezi okulya enguzi
Guno mulundi gwa kuna nga alipoota eno efuluma ng’eyolese era ensonga yeemu nti aba poliisi bakyakwata kisooka mu kulya enguzi
Ekitongole ekiramuzi kyekiddako awo ate nga bannaddiini beebasinga obutalya nguzi
Ng’afulumya alipoota eno, kaliisoliiso Irene Mulyagonja agambye nti omuwendo gw’abalya enguzi gweyongera bweyongezi okuva ku misangao enkumi bbiri okudda ku misango 2700 mu mwaka gwa 2013.
Abasinga okulya enguzi beebali mu gavumenti ez’ebitundu ng’eno emisnago 1700 gyeegyawaabwa
Mulyagonja agambye nti bafunye obuzibu mu kulwanyisa enguzi kubanga ensimbi balina ntono okutuuka mu buli katundu okulondoola ebiriyo
Bbo nno abali mu lutalo lw’okulwanyisa enguzi bagamba nti ekya kaliisoliiso obutatuuka buli wamu kyekireese obuzibu
Mu kadde kano wofiisi ya kaliisoliiso erina ofiisi mu bitundu 16 byokka mu disitulikiti 10 zokka ku distulikiti 112.
Akulira ekibiina kya Anti- Corruption Coalition Cissy Kagaba agamba nti abantu bangi beeganya okutambula okutuuka awali ofiisi zino okuwaaba emisango gubanga ziri wala.