Amawulire
Ekisanja eri Kaihura- Ababaka boogedde
Ababaka mu lukiiko olukulu olw’eggwanga bavuddemu omwaasi ku ky’okwongera Gen Kale Kaihura ekisanja nga senkaggale wa poliisi
Abakulembeze mu poliisi bayongedde gen Kaihura emyaka 3 ng’aweereza eggwanga nga kati palamenti y’esigadde okumuyisaamu
Kaihura kino kijja kumufuula ssabapoliisi eyakasinga okuwangaalira ku kifo kino
Yadde ababaka abamu bagamba nti kino kirungi, , abalala basabye ababaka abagenda okusunsula okulaba nti beetegereza emirimu gya Kaihura okubakakasa nti ajja kuwereeza abantu awatali kyekubiira
Twogeddeko n’ababaka okubadde Mathius Mpuuga, Ibrahim Semuju Nganda ne Peter Okeyo nga bonna bagamba nti kontulakiti ya Kaihura erina okwetegerezebwa