Ebyobulamu

Abatunda taaba tebajja gavumenti ku mulamwa

Ali Mivule

September 19th, 2014

No comments

smoker

Abali mu lutalo lw’okulwanyisa okufuuweeta sigala basabye palamenti okwanguyiriza okuyisa etteeka erinayongera okukugira okumukozesa .

Nga boogerako eri bannamawulire, abakulu bano bagambye nti ekya kkampuni ezimu ezikola taaba okuggalawo kigendereddwaamu kuwa gavumenti birowoozo birala ebe ng’ebivaako.

Ebbago ly’etteeka ku taaba lyakukaliga abakola taaba n’abamunywa ekyeralikirizza kkampuni ezitali zimu

Akulira ekibiina ekirwanyisa taaba ekya Centre for Tobacco Control in Africa, Dr. Prossy Mugyenyi agamba nti taaba ono wa bulabe nnyo eri obulamu

Mugyenyi era ayagala gavumenti ekolagane n’abalima taaba okulaba nti bafuna engeri endala y’okukolamu ssente mu kifo ky’okulima taaba