Ebyobulamu
Abawala abajjamu embuto bakweyongera
Okujjako nga amateeka gateekeddwawo, abawala abatoabagyamu embuto mu ggwanga baakweyongera.
Alipoota y’ekibiina ekinonyereza ku by’obulamu ekya White Ribbon Alliance yalaze nga abakyaala abafiira mu ssanya bwebeyongedde okuva ku 16 okutuuka ku 17 buli lunaku.
Ssentebe w’ekibiina ekigatta ababaka abakyaala Betty Amongi agamba abawala abafuna embuto nga tebaneetuuka bebavuddeko abakyaala abafiira mu ssanya okweyongera.
Ono agamba minisitule y’ebyobulamu esaana okuvaayo n’amateeka ku kugyamu embuto.