Ebyobulamu
Teri Kabuyonjo e Lwengo
Ab’ebyobulamu mu disitulikiti ye Lwengo benyamidde olwa kabuyonjo z’olubatu eziri mu bitundu ebitali bimu
Akulira okulondoola ebyobulamu mu disitulikiti ye Lwengo David Mugabi agambye nti okunonyereza kwebaakoze kulaga nti abantu ebitundu 20 ku kikumi beebalina kabuyonjo.
Ono agamba nti ebimu ku bifo ebisinga okuba obubi kwekuli Kingo, Kisekka ne Lwengo Rural.
Ono agamba nti abantu bangi bakyaama mu nsiko ate abalala basima binnya mwebagenda
Wabula abatuuze mu bitundu bino bagamba nti ebifo byebalimu birimu amazzi mangi nga tebasobola kusima mpanvu
Mugabi kyokka agamba nti bagenda kutandika ebikwekweto ebiggala amaka agatalina kabuyonjo