Ebyobulamu
Abalwadde b’emitwe beyongedde
Omuwendo gw’abantu abatabufu b’emitwe beyongedde mu ggwanga
Akulira ekiwayi ekikola ku balwadde b’emitwe mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Sheila Ndyanabangi agamba nti wakati w’omwaka 2009 ne 2012, abantu omutwalo gumu mu kasanvu beebalina ebizibu ku bwongo .
Dr.Ndyanabangi agamba nti kino kisinze kuva ku mbeera etali nyangu kweyimirizaawo, enkulakulana n’obukubagano mu maka.
Dr.Ndyanabangi ategeezezza nti abantu balowooza nnyo ku kugaggawala era bangi batuuka n’okutwala amabanja ekibakosa mu maaso eyo.