Ebyobulamu

Essomero kyadaaki lifunye Kabuyonjo

Ali Mivule

September 29th, 2014

No comments

Sch gets toilet

Kyaddaaki essomero lya Namwaya primary school mu disitulikiti ye Tororo lifunye kaabuyonjo.

Kino kiddiridde Olupapula lwa Daily Monitor okufulumya eggulire ery’omwana wa primary one okukalira mu ssentebe wa diditulikiti eno lwassomero lye butaba na kabuyonjo.

Messy Omalla yeewunyisa buli omu ku paleedi y’essomero bweyesimbye butoogo maaso ga ssentebe wamubuuza lwaki basoma nga tebalina kabuyonjo.

Ssentebe Emmanuel Osuna yasuubiza okukola ku nsonga eno era kati abayizi bali webakyamira.

Essomero lino eriweza abayizi abasoba mu 800 libadde terilina kabuyonjo.

Bwabadde aggulawo kabuyonjo ezimbiddwa ssentebe asabye abayizi bulijjo okuyiiyanga engeri gyebayinza okubanja empeereza okuva eri abakulembeze baabwe mukifo ky’okubaswaza.