Ebyobulamu
Kazambi akulukuta
Kazambi ayanjadde ku ddwaliro lye Nebbi ekireese okutya nti abalwadde ate bandyeyongera okulwaala
Kazambi ono era akulukuta butereevu okutuuka mu mugga Nyacara ate nga guno abantu gwebasenamu amazzi.
Omudumu gwa Kazambi ogwaabise gwaddabirizibwa emyaka esatu emabega nga gumase emyaka ebiri nga guli mbeera eno.
Omu ku batuuze ku kyaalo Aksi e Nebbi Esther Masendi agamba nti olw’obwaavu ng’abantu tebalina zakugula mazzi, bakozesa ga mumugga era nga gano goolese okubalwaaza
Ekidomola lya mazzi shs 200 nga bangi tebazirina
Akulira okulondoola ebyobulamu mu kabuga ke Nebbi Liberty Abdekani agamba nti bafubye okuwandiikira aba disitulikiti kyokka nga tebafuna kuddibwaamu