Ebyobulamu

Abe Mubende bafunye abasawo

Ali Mivule

September 29th, 2014

No comments

Mubende gets doctors

Gavumenti ng’eyita mu minisitule y’ebyobulamu eriko abasawo abakugu 3 b’ewerezza okukola mu ddwaliro ekkulu e Mubende.

Abasawo abawerezeddwa mwemuli omukugu mu ndwadde z’amagumba,omukugu mu kunonyereza ku ndwadde ez’enjawulo saako n’omukugu wa x ray.

Akulira eddwaliro lino Dr Edward Nkurunziza ategezezza nga bwebatabadde na bakugu bano ekibadde kivirako emirimo gy’eddwaliro obutatambula bulungi ng’abalwadde abasinga basindikibwa Mulago.

Ssentebe wa disitulikiti Francis Kibuuka Amooti bw’abadde mu nsisinkano n’abakugu bano agambye nti kino kijja kuyamba okutumbula ebyobulamu.