Ebyobulamu
Omusawo bamutadde ku kisenge
Omu ku basawo abakulembeddemu okujjanjaba abalina ekirwadde kya Ebola mu ggwanga lya Liberia assiddwa mu nkambi oluvanyuma lw’omuyambi we okufa ekirwadde kya Ebola
Minisita omubeezi akola ku byobulamu mu ggwanga lya Liberia agamba nti omusawo ono bamwawudde mu bantu kubanga yadde talina bubonero bwonna naye okwerinda kikulu
Ekibiina ky’ebyobulamu ekyensi yonna kigamba nti abantu abasoba mu 3000 beebakafa ekirwadde kino mu ggwanga lya Liberia