Ebyobulamu
Essomero lya Philly
Ab’enyumba y’omugenzi Philly Lutaaya batongozezza eddimu ly’okusonda ensimbi ez’okuzimba essomero erinasomesa n’okulabirira abayizi abalina obulwadde bwa Mukenenya
Akulira ekibiina kya Philly Lutaaya foundation Tezra Lutaaya agamba nti essomero lino lyakuzimbibwa Gomba omugenzi gyeyazaaliba
Agamba nti essomero eno lyakukolanga ku bavubuka nga bisatu nebannamwandu ababonaboona
Omukulu ono agamba nti ekigendererwa mu kino kutuukiriza birooto by’omugenzi Philly eby’okulwanyisa obulwadde bwa Mukenenya