Ebyobulamu

Omuyizi eyagobwa ku ssomero- bannakyeewa batabuse

Ali Mivule

October 6th, 2014

No comments

Ekyamangu kirina okukolebwa okubonereza abaagobye omuyizi olw’okubeera n’obulwadde bwa mukenenya

Abalwanyisa obulwadde bwa Mukenenya bagamba nti ekikolwa ky’okugoba abalina obulwadde bwa mukenenya tekikkirizika era kirina okuvumirirwa

Kino kiddiridde omuyizi ku ssomero lye Nalufenya Primary school e Pallisa okugobwa ku ssomero lwakubeera na siriimu.

Akulira ekibiina ekigatta abalina obulwadde bwa mukenenya, Margret Happy agamba nti ekikolwa kino kyalinyirira eddembe ly’omwana ono era kirina okuvumirirwa buli asobola

Bbo ab’essomero lino beegana dda ebyogerwa nti omwana ono yagobwa bugobwa kyokka nga tebanyonyola lwaki omwana tasoma