Amawulire
Ekirwadde kya Marburg kitabuse- abalala munaana bandiba nakyo
Ekirwadde ky’omusujja gwa Marburg kyongedde okutabuka ng’abantu 8 abasemberera eyafa ekirwadde kino nabo bafunye obubonero bw’ekirwadde kino.
Minisitule y’eby’obulamu yasindise dda omusaayi gw’abantu bano okukeberebwa mu kitongole ekikebera endwadde enkambwe entebbe
Ku 8 bano, 4 bava Mpigi, 2 Kasese n’abalala 2 okuva wano mu Kampala.
Enteekateeka z’okwaawula 8 bano ku bantu abalala zigenda mu maaso okwewala ekirwadde kino okwongera okusaasana.
Akulira emirimu mu misinitule y’eby’obulamu Dr. Alex Opio agamba akakiiko ak’enjawulo kakyagenda maaso n’okwekebejja abo bonna abaakwataganye n’eyakakasiddwa okuba n’ekirwadde kino.
Mu ngeri yeemu minisitule y’eby’obulamu yasindise dda ebikozesebwa okutangira ekirwadde kino ebiri eyo mu 300 mu ddwaliro ly’e Mpigi ne Mengo.