Ebyobulamu
Hepatitis B atabukidde abe Lango
Minisitule y’ebyobulamu ekakasizza ng’obulwadde bwa Hepatitis B bwebuzzeemu ate okutawaanya abe Lango
Abayizi bana okuva ku ssomero lya Aduku Secondary School mu disitulikiti ye Apac beebamaze okukakasibwa okuba n’ekirwadde kino era nga bassiddwa mu nkambi yaabwe ku Aduku health center IV.
Ku ntandikwa y’omwaka guno abantu bana beebafa obulwadde buno obwabalukawo mu disitulikiti ye Lira
Abantu abalala abalina obulwadde buno basangibwa mu gombolola ye Alito mu disitulikiti ye Kole
SSentebe wa disitulikiti, Andrew Ogwang Oyang asabye gavumenti okutunuulira ennyo eky’okwewala obulwadde buno mu kifo ky’okubujjanjaba
Obulwadde buno tebuwona era nga buva mu kwegatta n’omuntua bulina , okukozesa empiso ezimu, oba maama okubusiiga omwana
Obulwadde buno butandika namuntu kwengerera maaso, okukyaawa eby’okulya n’okunywa, omusulo omukwaafu n’embiro