Ebyobulamu
Okugaba omusaayi kutandise
Yuniti z’omusaayi 300 zeezisuubirwa okuva mu kawefube w’okukunga abantu okugaba omusaayi akulembeddwaamu aba Quality Chemicals.
Omusaayi guno gugenda eri bamaama abazaala nga beetaga omusaayi
Akulira Cipla Quality Chemicals Emmanuel Katongole agamba nti eggwanga lifuulwa abantu bangi olw’obutabaawo musaayi gubassibwaako
Katongole agamba nti kawefube w’okusonda omusaayi bakukoze nga bakuza nga bwegiweza emyaka omusanvu nga bawereeza bannayuganda