Ebyobulamu
Temulumba bisolo okulwanyisa Marburg
Pulezidenti Musweveni agamba nti endwadde ezizze zibalukawo nga Ebola ne Marburg zivudde ku bantu kwesenza ku bibira
Pulezidenti agamba nti abantu bano basemberera ebisolo by’omunsiko ng’enkima nga bino bibasiiga endwadde nebazitambuza
Asabye abakola ku bibira okunyweeza amateeka ku besenza ku bibira okukendeeza ku ndwadde
Agamba nti abakuuma ebibira balina omulimu ogukuuma n’abantu.
Bino pulezidenti abyogeredde ku mikolo gy’amefuga egy’omulundi ogwa 52
Ebigamba bya Museveni bizze ng’eggwanga likyatoba nakulwanyisa kirwadde kya Marburg ekyalumba eggwanga