Amawulire
Kakensa Mazrui afudde
Kakensa mu byenjigiriza era omusomesa kayingi Ali Mazrui afudde.
Mazrui afiiridde mu ggwanga lya Amerika ku myaka 81.
Omu ku ba seneta w’ekibuga kya Mombasa Hassan Omar ne gavana waakyo Hassan Joho bakakasizza okufa kakensa ono.
enteekateeka z’okuzza omulambo gw’omugenzi e Mombasa zigenda mu maaso wabula nga ekyamusse tekinategerekeka.
omugenzi awandiise ebitabo ebisoba mu 20 nga era mu 1963 yasenga wano mu Kampala n’atandika okusomesa essomo ly’obufuzi erya Political Science ku ttendekero ly’eMakerere.
bwabadde ayogera ku mugenzi, Professor Augustus Nuwagaba omusomesa ku ttendekero e Makarere nga era y’akolako n’omugenzi agamba ebyenjigiriza bya Uganda bifiiriddwa omuntu atazzikawo.
Mazirui y’azalibwa nga 24 February 1933 e Mombasa nga era azze awandiika ku by’obufuzi bwa Africa n’ensonga z’obusiraamu mu Africa.