Ebyobulamu
Kabuyonjo tezimala
Abakulembeze mu gavumenti z’ebitundu basabiddwa okukulembera olutalo okulaba nti buli maka gaba ne kabuyonjo
Minisita omubeezi akola ku by’obujjanjabi ebisookerwaako Sarah Opendi agamba nti mu kadde kano abantu abaweza ebitundu 74 ku kikumi beebalina kabuyonjo naye nga basobola okweyongera
Opendi agamba nti obutaba na kabuyonjo kivaamu abantu okumansa empita mbi ekivaamu endwaddde ng’ekiddukano ne Hepatitis E