Amawulire
Kkooti egobye okusaba kw’abagambibwa okuba abatujju
Kkooti etaputa ssemateeka egobye okusaba okwakolebwa abagambibwa okubeera abatujju nga bawakanya eky’okuwozesebwa mu Uganda
Abantu bano 11 babadde bawakanya eky’okubajja mu ggwanga lya Kenya ne Tanzania okuvunaanibwa mu kkooti za wano
Abalamuzi abataano aba kkooti ya semateeka nga bakulembeddwaamu Steven Kavuma bategeezezza nga bwewataliiwo tteeka ligaana muntu kuvunaanibwa mu ggwnaga gy’aba addirizza omusango
Abalamuzi era bagambye nti Uganda yakwatagana n’abobuyinza mu Kenya ne Tanzania okuyambako mu kukwata abantu bano kale ng’okubawozesa teguba musango
Abalamuzi era bagambye nti bano emisango gyebazza gyannagomola era nga okubayimbula nti badde ewaabwe kisobola okukosa eby’okwerinda bya Uganda n’ensi yonna kale nga beetaga kusigala nga baggalidddwa
Ku kwemulugunya kwaabwe nti babakaka okukkiriza nti beebatega bbomu, abalamuzi babasabye okulinda okuwulira omusango gwaabwe byonna babiweeyo
Bano kati basindikiddwa e Luzira okugira nga babeera eyo okutuuka kkooti enkulu lw’enassaawo olunaku lw’okuwulirirako emisango gyaabwe
Abantu aboogerwaako beebagambibwa okutega bbomu e Kyadondo Rugby Grounds ne Kabalagala nebatta abantu abasoba mu 70