Ebyobulamu
KCCA etusabe eddagala- NMS
Ekitongole ekitereka ebikozesebwa mu malwaliro kisabye aba KCCA okuwaayo okusaba kwaabwe okufuna eddagala
Kiddiridde aba KCCA okutegeeza ng’omujjuzo bwegubayitiriddeko okuva eddwaliro lye Mulago lweryatandika okukolebwaako nga kati n’eddagala lya kwekuba mpi.
Akulira ebyobulamu mu KCCA Dr.Daniel Okello agamba nti eddagala lyebasinga obutaba nalyo lyeeyo elikola ku ndwadde za bulijjo ng’omusujja
Kati omwogezi w’ekitongole ekigaba ebikozesebwa mu ddwaliro Dan Kimosho agamba nti balina eddagala erimala mu masitoowa kyokka nga tebasobola kuligaba nga teri alisabye