Ebyobulamu

Abakebera aba Ebola babanja

Ali Mivule

October 23rd, 2014

No comments

Entebbe airport 2

Abekebejja abantu abayingira mu ggwanga ku kisaawe Entebbe bazzeemu okwemulugunya nti tebasasulwa

Abakozi bano abasoba mu 5o baweebwa emirimu mu mwezi gw’omunaana oluvanyuma lw’obulwadde bwa Ebola okutabuka mu mawanga g’obugwanjuba bwa Africa

Abamu ku bakozi bano bagamba nti bamaze emyezi ebiri nga tebasasulwa

Wabula omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Asuman Lukwagoa gamba nti kino bakukikola mu kaseera akatali ke wala