Ebyobulamu
Amata ganafuya amagumba
Okunywa ennyo amata tekikendeeza ku bulabe bw’omuntu okunafuwa amagumba
Okunonyereza okukoleddwa mu ggwanga lya Sweden kulaga nti abakyala abanywa giraasi z’amata olunaku ate bali na mu bulabe bw’okunafuwa amagumba okusinga kw’abo abataganywa.
Abanonyereza bano bagamba nti basalawo okunonyereza ku nsonga eno okukakasiza ddala oba amata gano gayamba oba nedda.
Bano era bagamba nti mu birala ebinafuya amagumba mwemuli okunywa omwenge n’omugejjo.