Ebyobulamu

Yaka atuuse mu malwaliro

Ali Mivule

November 3rd, 2014

No comments

Yaka meters

Minisitule ekola ku byobulamu etegeezeza nga bw’egenda okubunya enkola y’amasanyarlaze ya yaka mu malwaliro gonna okusobola okukendeeza ku nkozesa y’amasanyalaze mu malwaliro gano.

Minisita e’ebyobulamu akola guno na guli  Dr. Elioda Tumwesigye atugambye nti kino kigendereddwamu kumalawo kizibu kya nsimbi z’amasanyalaze n’amazzi okwetuuma.

Tumwesigye agamba biiru z’amasanyalaze mu malwaliro gaabwe ziri waggulu songa ensimbi zikyabekubya mpi .