Amawulire
Ebigezo bigenze mu maaso- awamu bikereeye
Omusajja ow’emyaka ataano awunikirizza bangi bw’asizza ensonyi ku mabbali n’atuula ebigezo by’ekibiina ky’omusanvu
Awali Tezikuba atudde ne muwala we Janat Mukisa ow’emyaka 13
Bano batuulidde ku ssomero kya Bufulubi Primary School Mayuge gyebabadde basomera
Okwawukanako ne muwala we abadde asomero ku ssomero lino okuva mu kibiina ekisooka, omusajkja ono ow’abaana 19 yegatta ku ssomero lino mu kibiina ky’omukaaga
Tezikuba yali yalekera awo okusoma olw’ebbula ly’ensimbi era ng’agamba nti akikoze okujjukiza abantu nti okusoma tekuliiko myaka
Ate mu disitulikiti ye Arua , akulira abalondoola amasomero Raymond Ombere agambye nti abayizi abamu tebatudde bigezo kubanga bafumbirwa dda.
Ku ssomero lya Niva Primary School akulira essomero Steven Olia agambye nti abayizi mukaaga beebatatudde bigezo nga kubano bana bawala abawasibwa gyebuvuddeko.
Ku ssomero lya Jukia, erisangibwa e Nebbi, omuwala omu yafumbirwa ssabbiiti bbiri emabega era nga naye tasobodde kukola bigezo.
Abayizi olwaleero bakoze kigezo kya kubala ne SST gwebakoze olw’eggulo.
Yyo nno poliisi egamba nti okutwaliza awamu, ebintu bitambudde bulungi ku lunaku olusooka