Ebyobulamu
Muwummule mu biseera ebituufu
Okukolera mu ssaawa ezitali za mirimu kisobola okukaddiya obwongo bw’omuntu
Okunonyereza kuno kufulumidde mu kitabo ekitunuulira engeri emirimu gyegikosamu abantu
Abantu bano bwebati obwongo bwaabwe bukyuuka ng’okubutereeza kitwala emyaka etaano.
Abakugu bagamba nti ebizuuliddwa byakuyamba okutegeera engeri abantu gyebatandikamu okuwutta ng’abamu batuuka n’okubulwa otulo oba okugugumuka
Abanonyereza bano bamalirizza nga bagamba nti omubiri gw’omuntu gwakolebwa okubeera nga gukola emisana ate guwummule ekiro nga ssinga omuntu akyusaamu , aba abutatagaanya
Kino nno kireeta n’omugejjo ate mu bakyala kireeta kokoolo w’amabeere