Amawulire
Abayizi batandise ebigezo- awamu bitataaganye
Abayizi bataano aba siniya y’omukaaga tebakoze bigezo ebitandise olwaleero
Abayizi bano bonna nga bava mu ssomero lya Mbale secondary school tebalabiseeko nga kigambibwa okuba nti balwadde.
Abasatu tebakoze kigezo kya Biology ate ababiri tebakoze kigezo kya Economics.
Akulembeddemu okukuuma ebigezo, Bernard Nakisa agambye nti ategeezeddwa nti abayizi balwadde
Ate ku ssomero lye Nkoma ss, ebigezo bitambudde bulungi era ng’abayizi bonna bakoze ebigezo.
Mu disitulikiti endala nga Sironko, Manafwa, Bududa, Bulambuli, Tororo, Bukedea, Soroti, Kumi ne Soroti nayo tebaddeeyo buzibu
Wabula mu bitundu ebirala, abayizi batataaganyiziddwa amasanyalaze agavuddeko nga bakola ebigezo
Abakoseddwa beebakola essomo lya Bilogy ery’okussa mu nkola ebisomebwa ziyite practicals.
Abayizi abakoseddwa baku ssomero lya Lords Mead Vocational College erisangibwa mu Njeru town council.
Akulembeddemu okukuuma abayizi Prossy Kawuda agambye nti ebigezo biyimiridde okutuuka genereeta bw’ereteddwa
Abayizi ba siniya y’omukaaga batandise leero ebigezo okwetoloola eggwanga lyonna