Amawulire
E Kasese waliwo agambibwa okubeera ne Marburg
Nga kyakalangirirwa nga ekirwadde kya Marburg bwekiwedde mu ggwanga wabaddewo akasattiro mu tawuni ye Kasese oluvanyuma lw’omusajja abadde n’obubonero obwefananayirizaako ekirwadde kino .
Olunaku olwogulo minisitule y’ebyobulamu y’alangiridde nga Uganda bwetakyalimu Ebola.
Wabula e Kisagazi Alazio Bitaka yeralikirizza ababadde okumpi oluvanyuma lw’okusesema omusaayi nga n’obubi bwe bubaddemu omusaayi era ab’enyumba ye bonna bamudduse nga era abasawo okubva mu ddwaliro lya Municipaali bebayambye okumukima ewaka okumutwala mu ddwaliro.
Atwala eddwaliro lya muninicipaali ye Kasese Jerome Bwenge agamba ono yayawuddwa nnyo ku banne nga era baamugyeko omusaayi ogwatwaliddwa mu kitiongole kya gavumenti ekinonyereza ku ndwadde enkambwe ekya Uganda Virus Research Institute Entebbe .