Ebyobulamu
Obwenzi mu birombe bususse
Ssentebe wekibiina ekigata abasima zaabu mu gombolola y’ekitumbi emubende Edward Ssenfuma alaze obwerarikirivu olwembeera y’ebyobulamu mu birombe ebisimwamu zaabu mu kitundu kino.
Senfuma tebalina kabuyonjo zimala ng’abantu abamu beyamba mu nsiko ezibetoloodde ekiyinza okuvirako endwadde ezobulabe eri abantu mu kitundu kino.
Ono agamba nti n’ebikolwa ebyobwenzi ebisusse mu birombe bino byoolese okwongera ku muwendo gw’abantu abalina ekirwadde kya Mukenenya naddala mu baana abato.