Ebyobulamu
Abakyala 13 bafa e Mayuge buli mwezi
Abakyala 13 beebafa buli mwezi mu disitulikiti ye Mayuge
Abakyala bano bafiira mu mikono gya ba mulerwa
Bino biri mu kunonyereza okwakoleddwa ettendekero lye byobulamu e Makerere era ng’okufa okusinga kuva ku kuvaamu omusaayi omungi n’ebizibu ebijjawo awo mu kuzaala
Omu ku banonyereza Betty Kawala, nti buli gombolola lifaamu omukyala buli mwezi ate ng’awamu basukka nawo.
Kawala agamba nti bamulerwa abasinga bakyala bato abatalina bukugu bwonna nga beebatendeka bonna bazze bakaddiwa
Kyokka eyakulembeddemu okunonyereza Dr Peter Waiswa agamba nti yadde guno bweguli, omwuendo gw’abakyala abazaalira mu mikono gya ba mulerwa gukendedde