Ebyobulamu
Omusawo abba eddagaal
Waliwo omusawo akwatiddwa ng’abba eddagala lya gavumenti okuva mu ddwaliro lye Kawolo- Lugazi.
Akwatiddwa ye Hadijah Namutebi ng’asangiddwa ne paketi za Septrin, Coatem , amaganduula agambalwa abasawo abakomola abasajja abiri n’ebirala.
Byonna bibadde mu kalwaliro ke aka Mukisa Drug shop nga kasangibwa Namengo Lugazi mu disitulikiti ye Buikwe
Omukyala ono musawo mu ddwaliro lye Kawolo kyokka ng’abadde yawummula ng’ayongera okubangula mu ttendekero kya Kampala School of Health Science.
Omukyala ono akwatiddwa kaliisoliiso wa gavumenti oluvanyuma lw’omu ku batuuse okuwaaba
Omusawo ono nga Nakawere wa myezi esatu kati empappula zisindikiddwa e Kampala gy’agenda okuggulwaako emisango.